Friday, 1 February 2013

Poliisi eyodde 100 abazina ekimansulo e Ndejje nga bali bute!

From Bukedde
 
ESSAAWA zaabadde nga 7:00 ogw’ekiro ebbaala ya Henric esangibwa mu kabuga k’e Kanaaba-Ndejje ng’ekutte akati olw’abawala abaabadde obukunya nga bazina ekimansulo ku siteegi, poliisi we yayingiriddewo n’ebayoola ng’ayoola enseenene ku ttaala.

Abapoliisi we baazingiddeko ebbaala eno, kwabaddeko oluyimba lwa Eddie Kenzo olwa “tondoopa eka njagala kulya ssumbuusa……” ng’olwo abawala baggyemu obupale bw’omunda basigadde bute beetala mu balabi beetala bakirako nnamutale anyagiddwako ente.

Abawala abamu baabadde ku siteegi nga batudde ku macupa beebambye abasajja bagendayo ne babasuulirawo ssente awo ne babatogoonyola mu bitundu byabwe eby’ekyama!

Olwo abawala abalala baabadde bukunya nga baddidde amagulu gaabwe bagawanise ku butebe bwa pulasitiika beebambidde abasajja abaabadde babutuddeko nga nabo bwe babanyumirwa nga babaweeweeta bakirako abali mu kikolwa!

ABAMU ku bawala abaayooleddwa poliisi mu bbaala emu mu kabuga k'e Kanaaba-Ndejje nga bazina ekimansulo nga bali bukunya mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano.
Wano abapoliisi abasoose okuyingira munda okukakasa nti ebbaala eno baziniramu ekimansulo okwabadde OC wa poliisi y’e Salaama (C/ASP) Rebecca Ayeta ne basajja be, kyamususseeko kwe kuyita 999 ezaabadde zikubyeko abasirikale nga ziri bulindaala ne bazingako ekifo kyonna emabega ne mu maaso.

Ekyanzinze okuggya ofiisa Rebecca Ayeta mu mbeera, be bawala abato abaalabise nga bayizi kyokka nga nabo bali mu kuzina ekimansulo ng’ate ne mu balabi mulimu abamu.

Mu kikwekweto kino ekyakuliddwamu OC wa poliisi y’e Katwe (ASP) Deborah Ansinguza, (C/ASP) Majidu Karim ne (C/ASP) Rebecca Ayeta, kyayodde abantu 102. Kuno kwabaddeko abakazi 24 n’abasajja 78.

...............................................................................................................................................
Abamu ku bawala abaakwatiddwa Poliisi nga bazina ekimansulo mu bbala e Ndejje
ABAKAZI: Justine Nabulya, Juliet Nannyunja, Annet Iradukunda, Gift Kirabo, Flower Iradukunda, Daphine Mbabazi, Sarah Nabateregga, Christine Tumushabe, Julie Nassaazi, Fatuma Naluyima, Pupuuti Wiragyere, Amina Nakayenga, Flavia Namwanje, Lydia Nabukalu, Dorothy Kivumbi, Annet Nakabuye, Harriet Namutebi, Maayi Nabulya, Aisha Nabulya, Prossy Namakula, Jenina Nalukwago, Amina Nakalyango, Maria Nalusiba ne Aidah Nagawa.

ABASAJJA: Moses Muyimbwa, Bashir Mulumba, Martin Kalaani, Steven Mutebi, Deo Kanyike, Joel Kintu, Paul Ssenyonga, Paul Ssozi, Ismail Tebandeke, Fred Buule, Frank Kabugo Rusimbi, Ali Kasolo, Patrick Lutalo, Nicholas Kato, Ali Ssebaggala, Julius Kanyomozi, Richard Muyanja, Juma Kalyesuubula, Joseph Matovu, Frank Katwere, Wilson Ssewalu.

Abamu ku bawala abaakwatiddwa Poliisi nga bazina ekimansulo mu bbaala
Edward Kamya, Hassan Kazibwe, Jonathan Matovu, Enos Turyazayo, Norman Byamukama, Andrew Walugembe, Ibra Mbaziira, Matia Ndugwa, Mike Kiguli, Hassan Mbuulu, Mike Bongole, Farouk Bugembe, Alex Busingye, Andrew Kimbugwe, Hakim Kayita, Hassan Ssegirinya, Sam Mubiru, Deus Mushurika, Viane Kayinda.

Umaru Matovu, Fred Ntambi, January Wasswa, Sowedi Mboowa, Derrick Nsubuga, Shafiq Yiga, Vincent Kakooza, Julius Bright, Shafiq Lutaaya, Monday Nsubuga, Denis Nammande, Sunday Balikuddembe, Jabula Ssenyonjo, Ben Kalunda, Francis Tamale, Peter Kafeero, Godfrey Kawuma, Matia Mulumba, Muhammed Mayanja, Jackson Kaggwa, Julius Kayongo, Bernard Mwanje, Edward Mugwanya Hassan Ssesanga, Deo Mukiibi, Musisi Kinaalwa, Frank Bukenya, Alex Kayongo, Byamukisa, Ismail Kaddu ne Samuel Kawooya.

..........................................................................................................................................
ABAWALA abaabadde bazina ekimansulo nga bali bukunya n'ababadde bakiraba mu kabuga k'e Kanaaba-Ndejje poliisi ebayodde mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano nga bali bukunya.
Bano be bamu ku bayooleddwa mu kimansulo.
Mu kavuvungano akaabaddewo mu kubakwata, obutebe n’amacupa by’ayasiddwa era abamu byabasaze nga mw’otwalidde n’abasirikale. Ab’ebisumuluzo by’emmotoka, amasimu, ensawo z’omu ngalo byawandagadde.

Wabula abamu ku bavubuka abaabadde baddukidde emmanju baabadde batandise okukola effujjo okukasukira abapoliisi amayinja okubalemesa okukwata abamansuzi, abapoliisi ne bawandagazaamu amasasi mu bbanga ne bamalamu omusubi.

Ebbaala ya Henric mwe baabadde bazinira ekimansulo, ya mugagga Fred Ssebuguzi ng’eriko ne loogi emmanju eri abo ababeera bayiddeyidde ng’ebiwala bibasabbalaza gye beemalirako ekyoyooyo.

ABAMU ku bavubuka 78 abaayooleddwa mu kimansulo mu bbaala emu e Kanaaba-Ndejje.
Abamu baabadde bakazannyirizi ate abalala nga balaba nga bwe bakwata mu bitundu by'abakazi eby'ekyama. Ebifaananyi byonna bya Henry Ssennyondo
Abamu ku batuuze mu kitundu kino, baasanyukidde ekya poliisi okukwata abantu abo nga bagamba nti baali bakoowa dda kubanga ekifo kiboonoonedde abaana. Bonna abaayoleddwa, baatikkiddwa ku kabangali, mu takisi ne bbaasi ya poliisi ne batwalibwa mu budduukulu bwa poliisi e Katwe gye bakyakuumirwa nga balindiridde okutwalibwa mu kkooti.

Nga 13thJanuary, poliisi yazingako ebbaala ya Kitimoto e Salaama-Munyonyo n’ekwata abakazi abazina ekimansulo n’abaali bakiraba ne bakigenderamu. Baatwalibwa mu kkooti ne basibwa emyezi mukaaga.

No comments:

Post a Comment