Saturday 8 December 2012

Akatale k’e Nakasero ne Owino nkyabwetaaga - Basajjabalaba

OMUGGAGGA Hassan Basajjabalaba agambye nti akyetaaga okuweebwa obutale bw’omu Kampala okuli ak’e Nakasero ne Owino n’ekibangirizi kya Ssemateeka singa wabaawo omukisa gw’okuddamu okubimuguza.

Yagambye nti teyamattira na ngeri obutale buno n’ekibangirizi kya Ssematteeka gye byamuggyibwako  Pulezidenti Museveni  bwe yayingira mu nsonga  gavumenti n’ekkiriza okumuliyirira ensimbi obuwumbi 142.

Yabyogeredde mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo akaabuuzizza  ku nsimbi obuwumbi 142 gavumenti ze yamuliyirira ababaka ze bagamba nti nnyingi nnyo.

“Oba mulaba ssente eza dirirwa nnyingi banzirize obutale bwange kuba nkyabwagala. Nnali mpangudde ttenda z’okubutwala mu ngeri ya bwenkanya kyokka ne bunzigyibwako. Bwe wabaayo akakisa k’okubunziriza mbwetaaga,’’ Basajjabalaba bwe yagambye.


Bwe yabuuziddwa oba yennyini kkampuni ya Haba egatta amakampuni agaali gaweereddwa obutale yagambye nti ye ssentebe wa kkampuni eyo era alina obuyinza obugiddukanya.

No comments:

Post a Comment