Sunday 27 January 2013

Pastor Mark Kigozi ne mukazi we Maureen- Ffe twamala emyaka 13 mu bufumbo nga tetulaba ku mwana

 

PAASITA Mark Kigozi (45) owa Real Life Church e Namboole ne mukyala we Maureen Kigozi (41), balojja emyaka 13 gye bamaze mu bufumbo ng’omwana abuze mu nnyumba. Byonna babinyumya bwe bati:

Twasisinkana ne Maureen mu 1998, bwe nali paasita w’abavubuka ku KPC nga Maureen muyimbi. Twafuuka baamukwano era ne tubeera nga tutambulira wamu, kyokka nga simugambyeko nti mmwagala.

Obutafaanagana ng’abantu abasinga, twasooka kufuna lunaku kwe tunaayanjulira, nga sinnamugamba nti mmwagala, wadde okumusaba anfumbirwe.

Olunaku lwakya lumu ne mmugamba nti bannaffe banjudde, naye ffe twanjula ddi? Yakkiririzaawo ne tufuna olunaku kwe tunaayanjulira, olwo embaga n’ebeerawo nga May 1, 1999.

Okuwasa nava waka mu bazadde bange era mu wiiki yennyini eyo mwe twakolera embaga mwe nafunira ennyumba y’okupangisa.

Okusoomoozebwa kwe nsanze kwe kuba nti ebbanga ery’emyaka 14 gye tumaze mu bufumbo, nsinze kusoomoozebwa olw’obutabeera na mwana mu bufumbo. Ku lwange, eno teyali nnyo nsonga, kuba nali nkimanyi nti Katonda y’agaba omwana, era bw’aba tamukuwadde tomunyiigira.

Obuzibu bwasinga kuva mu bantu anti ng’oli akusanga n’akugamba nti owange oli ku ki, lwaki teweesalira amagezi nga
bukyali. Abamu bang’ambanga tugendeko mu basawo kyokka nga yonna nga batugamba nti tetulina buzibu bwonna.

Bwe twalaba ng’emyaka gigenderera tetulaba mwana kwe kusalawo okugenda mu kifo ekirabirira abaana abatalina mwasirizi
ekya Sanyu Babies Home ne tufunayo omwana omuwala mu 2003.

Mark ng'asitudde bbebi waabwe                                                         
Oluvannyuma twaddayo ne tufuna omulenzi era ne tubayingiza mu famire yaffe ng’abaana baffe era wano we twasalirawo eby’omwana okubyesonyiwa tusigalire kimu kunyumirwa bufumbo bwaffe.

Mu 2011 mukyala wange yagenda n’agwirwa olusujjasujja ne tugenda mu ddwaaliro, eno omusawo gye yatugambira nti tukebere oba lubuto. Kino twakigaanirawo ne tumutegeeza nti eby’omwana twabivaako dda.                                                                                

Bwe yalemerako ennyo ne tukkiriza, agenda okuleeta ebyavudde mu kukebera omukyala nga biraga nti ali lubuto lwa myezi ebiri. Kino saasooka kukikkiriza, nga ndaba omuntu amaze emyaka 13 ng’anoonya omwana, ayinza atya okuba olubuto!

Essanyu lyatujjula era Mukama n’atuyamba mu April wa 2012 ne tuzaala omwana.

MAUREEN KY’AGAMBA:

Wadde tubadde tumaze emyaka 13 nga tetulina mwana, mbadde sikirabamu buzibu, kuba Mark, abadde afaayo nnyo era nga tali awo kumpeeka nti oba bigaanyi kola bw’oti. Kale kino kibadde kimpa nnyo amaanyi.

Bakigozi ne famire yaabwe. Wakati ye bbebi gwe baafunye oluvannyuma lw’emyaka 13.
Mpozzi mmange yateranga okumbuuza nti mwana wange era bikyagaanyi? Nga mmudamu kimu nti maama tusabire busabizi, kuba Katonda y’agaba abaana.
Twafuna essanyu nga nfunye olubuto naye kati sirina ntegeka yaakuddamu kuzaala kuba emyaka ging’enzeeko nnyinza okufunira obuzibu mu zzaaliro kankuze baana baffe kuba buli mwana gwe tulina mu maka gaffe, mpulira nga kyamagero kya Katonda.

Kyokka eky’okuzaala ku mwana kyo kisukkawo kuba waliwo ebipya by’oyiga omuli okuyonsa n’ebirala era essanyu lyatweyongera mu maka.

Abafumbo ababuliddwa omwana, musabe busabi Katonda, kyokka bw’abeera agaanyi si y’enkomerero, obufumbo busobola okuyimirirawo wadde temulina mwana gwe mwezaalidde’.

No comments:

Post a Comment