Sunday, 27 January 2013

Eyayimba ‘Emmese’ yaakamala S6

 
MWAMI, mwami, mwami, emmese. Mwami zuukukaokube emmese... eriwa ? Eyo ngisse!... Ebyo bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba ‘Kuba Emmese’ kati efuuse eng’ombo mu bavubuka.

Buli aluwuliriza kumpi aluvvuunula bubwe ate bbo abakazi abafumbo abamu kati lwe bakozesa okusaba abaami baabwe omukwano.

Luyimbibwa omuvubuka era nga mupya mu nsike y’okuyimba amanyiddwa nga Captain Dolla. Yabaddeko mukafubo ne MARTIN NDIJJO

EKIBUUZO: Gwe ani ?

OKUDDAMU: Nze Lawrence nAliyenka, nnina emyaka 19.

EKIBUUZO: Ozaalibwa wa?

OKUDDAMU: Nsambya ew’omwami n’omukyala Dawson Aliyenka ne Irene Aliyenka.

EKIBUUZO: Okola ki?

OKUDDAMU: Ndi muyimbi mupya era nzize mmazzeeko okukuba emiziki y’ensonga lwaki sirina mulimu mulala.

EKIBUUZO: Ate eby’okusoma? Wabivaako?

OKUDDAMU: Nedda ssebo. ndi mu luwummula lwa S6 era nnasomera mu St. Peter S.S Nsambya.

EKIBUUZO: Ani yakuyigiriza okuyimba era watandika ddi?

OKUDDAMU: Kuva mu buto mbadde nnyimba ne ku masomero kyokka okugufuula omulimu natandika mwaka guwedde.

EKIBUUZO: Oyimba biki?

OKUDDAMU: Ruga-flow ne Dance-hall.

EKIBUUZO: Makulu ki agali mu luyimba lwo ‘Emmese’?

OKUDDAMU: Buli muntu aluvvuunula bubwe naye nze nnyimba ku mmese eya ddala kubanga abakazi n’abawala abasinga bazitya ate bw’agiraba era ayita musajja okugikuba.

Naye kati mpulira abantu batandise okuluggyamu eby’obuwemu, sisobola kubagaana kubanga buli muntu alina eddembe
okwogera ky’alowooza. Naye nze saagenderera kuwemula.

EKIBUUZO: Naawe olinayo akuzuukusa okukuba emmese?

OKUDDAMU: Nedda ssebo, njagala kusooka kumaliriza kusoma mpozzi n’okusooka okuyimusa ekitone kyange ndyoke mmufune.

EKIBUUZO: Owulira otya ng’osanze ‘Emmese’ oluyimba olugambibwa okuba nti luwemula nga lukubwa ku leediyo ne mu kiraabu?

OKUDDAMU: Ssanyu jjereere era eby’okuwemula nze sibimanyi.

EKIBUUZO: Buzibu ki bw’osanze ng’omuyimbi omupya?

OKUDDAMU: Olw’okuba ‘kati njokya’ abantu bangi abeefuula n’okweyita bamaneja bange. Waliwo n’abakwata
ssente z’abantu ne bazirya era bangi bansudde mu buzibu bw’okwewozaako n’okuzisasula naye maneja wange omutuufu ye Maloni Muwonge.

EKIBUUZO: Kati kiki ekiddako?

OKUDDAMU: Nze nkyabakuba miziki era nninayo akapya akayitibwa ‘Omulembe’. Kano nkagasse ku ‘Emmese’ ne ‘Ddereeva’.

No comments:

Post a Comment